Numbers 22:4-20

4Awo Mowaabu n’agamba abakulembeze ba Midiyaani nti, “Ogubiina gw’abantu bano bajja kulya byonna bye tuli nabyo ebitwetoolodde ng’ente bw’erya n’esaanyaawo omuddo ogw’oku ttale.”

Balaki mutabani wa Zipoli, eyali kabaka wa Mowaabu mu biseera ebyo,
5 an’atuma ababaka eri Balamu mutabani wa Byoli, eyali mu Pesoli, ekiriraanye Omugga, mu nsi y’ewaabwe, okumuyita ng’amugamba nti,

“Abantu bali wano, baavudde mu Misiri, basaanikidde ensi yonna we batudde; basiisidde wano okunninaana.
6 bKale nno, nkusaba ojje onkolimirire abantu bano, kubanga bampitiridde amaanyi. Oboolyawo lwe ndisobola okubawangula ne mbagoba mu nsi yange. Kubanga mmanyi nga gw’okolimira akolimirwa, ne gw’osabira omukisa aweebwa omukisa.”

7 cAwo ababaka abaatumibwa, abaali abakulembeze ba Mowaabu n’abakulembeze ba Midiyaani, ne basitula nga batutte n’ensimbi ez’okumusasula. Bwe baatuuka eri Balamu ne bamutegeeza obubaka Balaki bwe yabatuma.

8 dBalamu n’abagamba nti, “Musule wano leero, nange nnaabatuusaako ekigambo Mukama ky’anaaba aŋŋambye.” Bwe batyo abakungu abaava mu Mowaabu ne basula ewa Balamu.

9 eKatonda n’ajja eri Balamu n’amubuuza nti, “Bantu ki bano abali naawe?” 10Balamu n’addamu Katonda nti, “Balaki mutabani wa Zipoli, Kabaka wa Mowaabu ye yampeereza obubaka buno ng’agamba nti, 11‘Abantu abavudde mu Misiri basaanikidde ensi we batudde. Kale nno jjangu obankolimirire. Oboolyawo ekyo kiyinza okunsobozesa okubalwanyisa ne mbagoba mu nsi yange.’ ”

12 fNaye Katonda n’agamba Balamu nti, “Togenda na bantu abo. Abantu bali tekikugwanidde kubakolimira, kubanga baaweebwa omukisa.”

13Enkeera mu makya Balamu n’azuukuka, n’agamba abakungu abaatumibwa Balaki nti, “Muddeeyo mu nsi yammwe, kubanga Mukama Katonda aŋŋaanye okugenda nammwe.”

14Abakungu aba Mowaabu ne bakomawo eri Balaki ne bamugamba nti, “Balamu yagaanye okujja naffe.”

Katonda Akkiriza Balamu Okugenda

15Balaki ne yeeyongera okutuma abakungu abalala, nga baabitiibwa binene era nga bangi okusingako ku bali abaasooka. 16Ne bajja eri Balamu ne bamugamba nti,

“Bw’ati bw’ayogera Balaki mutabani wa Zipoli nti, ‘Nkwegayiridde, tokkiriza kintu kyonna kukuziyiza kujja gye ndi;
17 gkubanga nzija kutumbula nnyo ekitiibwa kyo, era ŋŋenda kukukolera kyonna ky’ononsaba. Jjangu onkoliimiririre abantu bano.’ ”

18 hNaye Balamu n’addamu abo Balaki be yatuma nti, “Balaki ne bw’alimpa enju ye ng’ejjudde ffeeza ne zaabu sigenda kukola kinene oba kitono nga kisukka ku kiragiro kya Mukama Katonda wange. 19 iKale nno musule wano olwa leero, nga bannammwe bwe baakola, nange mpulire Mukama Katonda ky’anaayongera okuŋŋamba.”

20 jMu kiro ekyo Katonda n’ajja eri Balamu n’amugamba nti, “Obanga abantu abo bakuddukidde, genda nabo, naye okole ekyo kyokka kye nnaakulagira okukola.”

Copyright information for LugEEEE